Omulimu gw'okuddabiriza ekizimbe kya Uganda house mu Kenya,abavubuka abekalakaasi mu Kenya kyebaatekera omuliro gukyeesibye, government yakuno egambye nti ekyalinze ebinaava mu kunoonyereza okuva mu bitongole bya Kenya ku kituufu ekyaaliwo...
Abatuuze be Naalya mu Kira municipality mu Wakiso district beekumyemu ogutaaka nebamenya geeti eyateereddwa ku kkubo eriyingira mu Estate ye Naalya, ku bigambibwa nti obumenyi bw'amateeka bubadde bususe saako emmotoka...
Alipoota y’Akakiiko akalafuubanira Obwenkanya mu ggwanga aka Equal Opportunities Commission, eraze nti Obusosoze mu ngabanya y’Obuweereza bwa government bweyongedde ebitagambika, naddala bwekituuka ku Bantu abatamanyiddwa nti banna Uganda, newankubadde mwebawangaalira....
Government kyadaaki esazizzaamu ebyapa byonna ebiri ku ttaka lye Kaazi, obuvunaanyizibwa neerizza eri gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, liddukanyizibwe ekitongole ki Buganda Land Board. Ekyama kino kibotoddwa ssaabawolereza w’Obwakabaka Owek Christopher...
Minister omubeezi ow'ebyensimbi n'okuteekerateekera eggwanga avunaanyizibwa ku bibiina by'obwegassi Hajji Haruna Kyeyune Kasolo alagidde police ne ba RDC okukwata abawozi b'ensimbi abamanyiddwa nga ba ' money lenders' abatwala ebibanja by'abantu...
Abatuuze n'abavubi ku kiziinga kye Kkirewe mu Lubya town council mu District ye Buvuma bavudde mu mbeera nebanaabira mutuuze munaabwe mu maaso ne bamugoba ku kyalo, bamulanga okweyisa mu ngeri...
Police etandise okunoonyereza ku buvune president w’ekibiina ki National Unity Platform bwafunye, mu kavuvungano akabaddewo wakati w’Abawagizibe ne police e Bulindo mu Kira municipality mu district ye Wakiso leero nga...