Government mu butongole eyimirizza ebidduka byonna ebibadde biyita ku Lutindo lw’e Karuma, lumenyebwewo luddemu buto okukolebwa.
Minister avunaanyizibwa ku by’enguudo n’entambula Gen. Katumba Wamala agambye nti okuva nga 23 September,2024 tewali kidduka kyonna kigenda kuba nga kikkirizibwa okuyita ku lutindo lwa Karuma bridge.
Gyebuvuddeko government ebadde yayimiriza emmotoka ennene ezisaabaza eby’amaguzi ne bus okuyita ku lutindo luno, wabula kati ebidduka byonna omuli emmotoka eza buyonjo, pikipiki n’ebirala bigenda kuba tebikyakkirizibwa kuyitako okuva nga 23 September,2024.
Okusinziira ku kitongole kya Uganda National Roads Authority(UNRA), omulimu gw’okuddaabiriza olutindo luno gwakumala emyezi egisoba mu 3.
Abantu abagenda mu bukiika kkono bwa Uganda, baweereddwa amagezi okukozesa enguudo endala.
Abava e Kampala okudda e Ggulu ne West Nile basobola okuyita e Luweero—Kafu—Masindi—Paraa (Murchison Falls National Park) okutuuka e Pakwach Olwiyo ne Gulu.
Abagenda e Rwenkunye—Apac basobola okuyita ku kidyeri kya Masindi Port ferry.
Abalala abagenda e Lira basobola okuyita e Iganga—Nakalama —Tirinyi—Pallisa—Kumi—Soroti—Lira.#