BUSIRO SACCO AGM 2021
Ttabamiruka wa Busiro CBS PEWOSA Sacco 2021 akomekkerezeddwa noobubaka eri bamembea mu Sacco eno okukuuma ettaka lyabwe nga bayita mu nkola eyokunyweza Obumu n’obwegassi nga balikolerako ebintu ebibakulakulanya.
Obubaka buno bubaweereddwa minister mu Bwakabaka avunanyizibwa ku Ttaka ,Obulimi ne bulungibwansi Owek Mariam Mayanja Nkalubo bwabadde omugenyi omukulu mu ttabamiruka wa Busiro CBS Sacco owookubiri.
Omukolo guyindidde Kyengera.
Owek Mariam agamba nti mu nkola eno eyobwegassi abamemba basanye okutandiikawo Pulojekiti ezenjawulo, nga bazikolera ku ttaka okusobola okulikuuma nookwekulakulanya.
Mungeri yemu Oweek asabye bannakibiina ki Busiro CBD PEWOSA Sacco okunywerera ku misingi ejiyimirizaawo Sacco,era bamanye nti bulyomu alina obuvunanyizibwa kukuyimirizzawo Busiro Sacco, baleme kulowoza nti ya Bakulembeze bokka.
Ssentebbe wa Busiro Omukungu Joseph Magalanyago ategezeza nti wadenga waliwo okusoomozebwa kwa Covid 19, basobodde okuyimirizawo Busiro Saco era nga balina binji byebatuseeko.
Mulimu enkola eya Mobile Sacco egendereddwamu okwanguyiza ba memba okutereka nokumanya ebikwata ku Account zabwe era asabye ba Memba okugyetanira .
Ssenkulu wa Busiro CBS PEWOSA Ssaco Maureen Nanyanzi ategezezza nti omwaka 2022 bagala okwongera amaanyi mu kubangula abantu ba Ssabasajja Kabaka mu Ssaza Busiro ku ngeri yokwekulakulanyamu.
Asabye ba Memba okwongera amanyi mukutereka nookwewola okusobozesa Sacco okukola amagoba.
Busiro CBS PEWOSA Sacco yatandika mu mwaka 2019 n’ekigendererwa ekyo kukulakulanya abantu ba Ssabasajja Kabaka okuyita mu kwewola nookuteereka bekulakulanye.
Werutuukidde olwaleero Busiro CBS Ssacco erina ebibiina 228, yatandiika ne bibina 159 ,ba memba ssekinomu bali 636 yatandiika na 357.
Bisakiddwa: Nakato Janefer