Police mu district ye Mityana ekutte omusajja Samuel Tumusiime agambibwa okukuba mukyalawe akatayimbwa n’amutta, ng’amulanga okukweka ensimbi ze naagenda azinywamu omwenge.
Ettemu lino libadde ku kyalo Kyakosi mu gombolola ye Ssekanyonyi e Mityana, ng’omukyala attiddwa ye Margrete Nabisinde abadde wa myaka 35.
Tumusiime asoose kutegeeza nga bwebagudde ku kabenje nga bava okukyakalako ne mukyalawe, nti pikipiki nebakuba ekigwo omukyala n’afiirawo.
Wabula waliwo abatuuze abaabalabye nga balwana nga Tumusiime bw’alumiriza Mukyalawe nga bwasusse okumukwekako sente ze n’agenda mu bbaala neyesiwa amagengere.
Oluvannyuma lw’okulwana okumala akaseera omusajja yakutte akatebe n’akakuba omukazi, yalabye tekimumalidde kwekukwata akatayimbwa n’akamukuba akamuviiriddeko okufa.
Omwogezi wa police etwala ekitwala Mityana Rachael Kawala agambye nti Samuel Tumusiime agenda kuggulwako omusango gw’obutemu.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi