Police mu district ye Kiboga ekutte abantu 3 basangiddwa n’ente bbiri eziteberezebwa okuba enzibe.
Ente babadde bazitaambuliza mu mmotoka eya Taxi No.UAY 374 Y.
Abakwatiddwa kuliko Kamya paul wa myaka 19 mutuuze we Busunju, Kayizzi Ronald myaka 35 mutuuze we Wattuba Kyankwanzi ne Kibombo Rashid myaka 27 avuga taxi mutuuze we Kayunga mu Wakiso District.
Okukwatibwa babadde balina omukinjaaji gwebabadde batwalidde ente zino azigule mu
Lufula cell town council ye Kiboga, wabula bw’ababuuzizza ebizikwatako nga tebabirina kwekukubira police ejje ezeekebejje.
Omwogezi wa police mu kitundu ekyo Racheal Kawala agambye nti byebaakazuulawo biraga nti ente nzibe era nga kiteeberezebwa nti zibbiddwa mu bitundu bye Busunju.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi