Omuliro gukutte negusaanyaawo ebintu by’abayizi ku somero lya Kakungulu memorial school e Kibuli Makindye Division mu Kampala.
Ekisulo ekiyidde kibadde kisulamu abayizi abalenzi 52 aba S.3.
Okusinziira ku mwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire, omuliro gukutte ku ssaawa nga mukaaga ogw’ekiro ekikeesezza olwa nga 17 September,2024, era police y’abazinnyamwoto eyitiddwa mangu okujja okutaasa naye ekivudde omuliro guno tekinategeerekeka.
Oweyesigire agambye nti omuyizi omu afunye ebisago by’omuliro n’addusibwa mu ddwaliro e Kibuli.
Mu ngeri yeemu omuliro gukutte akayumba omufumbirwa emmere akamanyiddwa nga aka Rose, ku kitebe kya Entebbe municipality.#