Akakiiko k'eggwanga akavunanyizibwa ku ttaka lya government aka Uganda Land Commission kamazeeko ababaka ebyewungula bwekategeezeza nti ku byapa by'ettaka 40, okutudde ebitebe bya Uganda mu mawanga amalala kalinako ebyapa 14...
Akabenje kugudde e Makindye mu Kampala okuliraana essuundiro ly'amafuta erya Africa emmotoka ebadde yetisse amatooke eremeredde omugoba waayo, n'esaabala emmotoka endala ne bodaboda omusaabaze omu afiiriddewo. Kiteberezebwa nga nti emmotoka...
Abasawo ababadde banoonyereza ku kirwadde ekitta abantu mu gombolola ye Kabira mu district ye Kyotera, bazudde nti bulwadde bwa Anthrax bwebwabatta oluvannyuma lw'okulya ennyama y'ente endwadde. Abasawo okuva mu ddwaliro...
Ba Sentebe ne bamemba ku bukiiko obukulira eby'ettaka mu Gombolola ezikola ekibuga Kampala obwa Division Area Land committee balayiziddwa, era bakubiriziddwa okukola ekisobo okulaba nga emivuyo gy'ettaka omuli n'okugobaganya abantu...
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibuuzo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board kikakasizza abantu 14,000 abagenda okukiyambako okugolola ebigezo by'a bayizi ba P.7,S.4 ne S.6. Ebifo 33 abagolola ebibuuzo bino mwebagenda...