Judiciary to Resolve 1,424 Commercial Cases worth Shs325 Billions through mediation
Watoto Church ne Rotary club ya Kampala Ssese Island bawaddeyo obukadde bwa shs 131 kukugula eddwaliro eriseeyeyeza ku mazzi – ab’Oluwalo nabo bakiise n’obukadde 60
Tom Ikara mu butongole yegasse ku club ya AFC Leopards eya Kenya
Abantu 21 bebaakakwatibwa ku by’okutemula David Owor – abadde Captain wa Villa Jjogo
Mawogola ekubye Ssingo goolo 2 : 0 – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026
Ambassador Olara Otunu avuganya ku bwa Ssaabawandiisi wa United Nations ali America anoonya buwagizi – ali  Dr.Ruhakana Rugunda n’olukiiko lwe oluwenja obuwagizi
Katikkiro Mayiga awabudde abavubuka okwettanira obufumbo obuliwo mu mateeka – baluηamizibwe n’okufuuka ab’obuvunaanyizibwa
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM

Stromme Foundation

Stromme Foundation kitongole ky’obwannakyewa ekigenderera okulwanyisa obwavu, n’okukyusa obulamu bw’abantu, nga kiyita mu kubasomesa ebintu ebyenjawulo ebisobola okubayimirizaawo.

Kyatandikibwawo mu 1976,ng’ekitebe kyakyo ekikulu kiri mu ggwanga lya Norway, wabula nga kirina wofiisi mu bitundu ebyenjawulo, nga wano mu East Africa bali mu Uganda, Tanzania, Kenya ne SouthSudan.

Stromme yatandika obuweereza bwayo mu Uganda mu 1982, ate mu 1994 lweyaggulawo wofiisi zaayo mu kibuga Kampala Plot 1 Kololo hill drive, Block A Level 2.

Stromme Foundation bannamukago ne CBS, era nga bebavujjirira emirimu gy’ekitongole kya CBS Pewosa NGO.

Mu nteekateeka eno, mulimu okusomesa abantu okweterekera ku sente zebafuna nga bayita mu bibiina byabwe byebegattiramu, ng’abantu abemenayi obulungi era nga betegeera, bewola ensimbi ku magoba amatono, n’okwetandikirawo emirimu okuyita mu  nkola ya PEWOSA ( Project to Empower Women through Savings and loan Associations).

Mulimu okusomesa abavubuka emirimu gy’emikono okweyimirizaawo n’okulwanyisa Obwavu.

https://eastafrica.strommefoundation.org/

Welcome Back!

Login to your account below

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Add New Playlist