Gomba eyongedde okuvumbeera – Busujju ejikubye 2-1 mu mupiira gw’empaka z’amasaza 2025
Bbingwa Toto 2025 – basatu bayiseewo okweyongerayo mu luzannya oluddako
Katikkiro Mayiga awabudde abavubuka okukozesa emitimbagano obulungi okwekulaakulanya – mu kifo ky’okugikozesa okusiga obucaayi
Democratic Front etandise okusunsula abaagala okugikwatira bendera mu kalulu ka 2026 – abasoba mu 40 basuunsuddwa ku lunaku olusooka
Omuyimbi Hajjati Stecia Mayanja alayiziddwa nga president w’ekibiina ky’ebyo’obufuzi ki National Peasants’ Party
NUP School of Leadership etikkidde abayizi 184 mu masomo g’obukulembeze – Robert Kyagulanyi awabudde abavubuka baleme kuliinda kuweebwa buweebwa buli kimu
Omuwaabi w’emisango gya government ya Uganda omulala ateeberezebwa okuba ng’attiddwa
KCCA FC ezizza buggya endagaano ya captain wabwe Filbert Obenchan – ayolekedde okuweza emyaka 10 mu KCCA
Obukadde bwa shs 700 bwebwakasoondebwa mu wiiki 2 ku kijaguzo eky’emyaka 100 egya lutikko y’e Lubaga
Katikkiro Mayiga asisinkanye abaami ba Kabaka ab’amasaza – abasabye okukozesa obuyinza bwabwe okunyweeza ebyobugagga by’Obwakabaka
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM

CBS-PEWOSA NGO

Okuva ku kkono;Oivind Ermando Reinertsen avudde mu Norwagian Agency on exchange Cooperation,omuk.Micheal Kawooya Mwebe akulira CBS FM, Marit Erdal ne Florence Luwedde akulira CBS PEWOSA NGO.

Radio Buganda CBS FM  ezizza bujja enkolagana yaayo n’e kitongole kya Norway, ekya Norwegian Agency for Exchange Cooperation mwebayita okuwanyisiganya abavubuka abalina obukugu obwenjawulo, nabaakava mu mussomero, okutumbula embeera zabwe nébitundu gyebawangaalira.

CBS FM endagaano gyeyasooka okukola nékitongole kino yali ya myaka 5 , era mwebayita okuweereza abavubuka 2 mu Norway okufuna obukugu mu bintu ebitali bimu, omuli ebyobuwangwa, Technologiya nengeri yokulakulanyamu ebitundu gyebabeera.

Norway okuyita mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation wamu ne Stromme Foundation, nabo bakuleeta abavubuka 2 okuweerereza mu kitongole kya CBS Pewosa NGO.

Babadde mu studio za CBS FM

Abakungu okuva mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation okubadde omuwi wamagezi Marit Erdal,  n’omulondoozi w’e nteekateeka Oivind Armando Reinertsen basisinkanyemu senkulu wa CBS omukungu Micheal Kawooya Mwebe mu wofiisi ye ku Masengere okwongera okuttaanya ku  nteekateeka eno.

Omukungu Kawooya Mwebe agambye nti enteekateeka eno ekyusizza nnyo entambuza y’e mirimu mu bitongole bya Ssaabasajja ebitali bimu, era bakwongera okugikwata obulungi bongere okujjamu ebibala.

Akulira okulondoola emirimu mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation Oivind Armando Reinertsen atenderezza CBS FM olwolwenyigira mu kukyusa embeera z’a bantu.

Babadde Nanziga nga balambula ekifo ky’abawala webayigira okutunga engoye

Akulira CBS Pewosa NGO, Florence Luwedde agamba nti bakukozesa program eno okutwala ekitongole kya Cbs Pewosa NGO mu maaso, n’okusomesa abavubuka emirimu gy’omikono okwekulakulanya n’ebitundu gyebabeera.

Bakyaddeko e Nanziga ku kifo Abaana abawala webasomesebwa okutunga engoye n’okusiba enviiri.

Abaana bano Bali mu project eyitibwa ‘BONGA’

Mu nkolagana eno, ekitongole kya CBS PEWOSA kyakutumbula enkola yémirimu gyakyo nébitundu mwebakolera, nga bawanyisa obukugu ne  bannabwe abava e Norway.

 

Welcome Back!

Login to your account below

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Add New Playlist