Police ye Lusanja ne Kiteezi zisaanze akaseera akazibu okugumbulula abantu ababadde bekalakaasa, nga balumiriza government ne KCCA obutabafaako ng’ate amazzi gasanyaawo amaka gabwe.
Omwezi oguyise ogwa July 2024, entuumu ya Kasasiro yabumbulukuka n’etta abantu n`okusanyaawo amayumba, ku byalo 3 okuli Lusanja, Kiteezi ne Kiteetikka.
Abatuuze bagamba nti kasasiro eyabumbulukuka n’akulukuta yaziba omwala ogwali gutaambuza amazzi, ekyaviirako amazzi okutandika okwanjala negayingirira ennyumba z’abatuuze ku byalo ebyali biriranyeewo.
Abatuuze abamu ennyumba zabwe baazaabulira dda, wabula nti ekisinga okubaluma amazzi ganatera okumenya ennyumba zabwe nti kyokka government ne KCCA tebalina kyebaakozeewo kubataasa, ekibatanudde okwekalakaasa.
Police ereeteddwa okuzza embeera mu nteeko ku kyalo Kiteezi ne Lusanja.
Oluvanyuma Twinomukama Charles atwala police ye Kiteezi, awoyawooyezza abatuuze bano era nabaggyako n’ebipande byebabadde beyambisa mu kwekalakaasa.
Bisakiddwa: Musisi John