Police mu district ye Kyankwanzi ekutte omukyala ateeberezebwa okukkira omwana wa bba n’amutta, omulambo n’agusuula mu kinnya kya kabuyonjo, ku kyalo Kiryannonho.
Omukwate ye Nabakooza Kasifa n’omukozi amuyambako ewaka ategeerekeseeko erinnya limu lya Batala
Omwana attiddwa ye Nambuya Marjorine ow’omwaka 1 n’emyezi 8, mwana wa Geofrey Katende ne Teofiisa Nakafeero.
Kigambibwa nti Nabakooza Kasifa nga naye mukyala wa Geofrey Katende, yalimbyerimbye omwana omukulu owa Nakafeero eyabadde asigazza omwana n’abeerako w’amautuma, wabula omwana yagenze okukomawo, Nabakooza nebamutegeeza nti omwana yabadde amubuzeeko.
Wano Omwana omukulu yategeezezza abantu abalala nebatandika omuyiggo, n’abazadde b’omwana webaatuukidde nebabeegattako.
Police nayo yayitiddwa neyegatta ku muyiggo, era omwana yasaangiddwa ng’asuuliddwa mu kinnya kya kabuyonjo ebadde yakaziimbibwa ewaka.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Wamala ekitwala Kyankwanzi Racheal Kawala agambye nti omulambo gw’omwana gwekebejjeddwa nekizuuka nti basoose kumutuga n’okumukabasanya ebitundu bye ebyekyama, olwo nebamusuula mu kabuyonjo.
Mu kiseera kino abakwate okuli Nabakooza Kasifa n’omukozi amuyambako ewaka ayitibwa Batala bakuumibwa ku police e Kyankwanzi.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi