Ministry y’ebyentambula mu ggwanga eyimirizza Bus zonna eza Kampuni ya Jaguar okumala ennaku 10 nga tezitaambulira ku nguudo za Uganda zonna, zisooke zinoonyerezebweko.
Ekiragiro kino kivudde ku kabenje akaakolebwa bus ya Jaguar No.UBP 964T eyali eva e Kampala ng’edda e Rwanda, nemufiiramu abantu 8 mu bitundu bye Kabale Bugonzi ku luguudo lwe Masaka .
Ebyakanoonyereza biraga nti omugoba wa bus eyo yali avugisa kimama ekyamuviirako okwekanga mmotoka endala, mu kugezaako okuwugula bus yamulemerera n’agikuba ekigwo, abantu 8 baafa, abalala bakyapooca n’ebiwundu.
Minister omubeezi ow’ebyentambula Fred Byamukama asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku office ye mu Kampala, nategeza nti ministry esazeewo bus za Jaguar zisooke ziyimirizibwe okuva nga 13 September,2024, era nti emmotoka zino okuzikwatira ku luguudo lwonna nebweba etwalibwa mu garage musango okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde.
Ministry erina n’ebiragiro ebirala byetadde ku Kampuni ya Bus ya Jaguar eno omuli okuleeta emmotoka zonna Kampuni zerina eri ministry zekebejebwe,okutwala abavuzi bazi bus zino nabo bekebejjebwe, nga kino nakyo kyakubayambako mukunonyereza kwabaliko
Bisakiddwa: Edith Nabagereka