Omuduumizi w’eggye lya UPDF era omuwabuzi wa President ku bikwekweto eby’enkizo Gen. Muhoozi Kainerugaba alonze Brig. Gen Asaph Mweteise Nyakikuru okukolanga omuduumizi w’eggye erikuuma President erya Special Forces Command (SFC).
Gen.Muhoozi era amulinyisizza eddaala okugira ng’abeera ku ddaala lya Major General, okuva ku lya Brig General kw’abadde.
Akolanga omwogezi wa UPDF Col Chris Magezi agambye nti Nyakikuru emirimu gya Nyakikuru agitandikiddewo, ng’azze mu bigere bya Major General David Mugisha atandise okweteekateeka okugenda ebweru w’eggwanga okwongera okubangulwa mu by’ekijjaasi.








