Government yakuziimba essuundiro ly’amasannyalaze mu bitundu bye Ntinda, erigenda okwongera okuliikiriza ebitundu bya Kampala.
Kampala ebadde yesigama nnyo ku ssundiro ly’amafuta ery’e Kawanda, wabula kizuuliddwa nti olw’obwetavu obungi n’ebintu ebikozesa amasanyalaze okweyongera essundiro lino terikyamala.
Wabaddewo ekizibu ky’amasanyalaze okuvaavaako ensangi zino, nga government egamba kivudde ku masundiro agadaabirizibwa okwetoloola eggwanga, okuli erye Maya, Buloba, Mutundwe, Bujagaali ne Mukono, mu pulojekiti eyatuumibwa Greater Kampala Metropolitan Transmission System Improvement Project.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyamasanyalaze, Eng. Irene Pauline Batebe, agambye nti waliwo entereeza y’amasannyalaze ebadde ekolebwa ekikosezza ennyo abantu nga gavaako buli kadde, wabula asuubizza nti wegunaatukira omwezi gw’omwenda bijja kuba biteredde.
Eng. Irene Pauline Batebe, yagambye nti kino kyasinze nakuva ku muwendo gwa banna Uganda abeeyongedde obungi abeetaaga amasanyalaze, ng’omuwendo guvudde ku bitundu 10% okutuuka ku 14% buli mwaka.
Wabula minister omubeezi avunanyizibwa ku masanyalaze, Sidronius Okaasai Opolot, ategezeza CBS nti bamaze okufuna ettaka mu bitundu bye Ntinda ewagenda okuzimbibwa essundiro eddala erinayambako ku kibuga Kampala.
Minister Opolot era okubirizza abantu okwongera okukozesa amasanyalaze mu mirimu ejivaamu ensimbi, kiyambeko ku byenyingiza yabwe n’okutumbula eby’amaguzi ebikolebwa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis







