Government ya Uganda erangiridde bulungi bwansi okwetoola eggwanga lyonna, ng'agenda kubeerangawo buli lwamukaaga olusemba mu mwezi Government egamba nti enkola eno eyokuyonja ebitundu yakuyambako okukendeeza ku ndwadde eziva ku bukyafu....
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agguddewo mu butongole eddwaliro lya Muteesa II Kalasa erisangibwa mu gombolola ye Makulubita mu ssaza Bulemeezi. Mu ngeri eyenjawulo Katikkiro awanjagidde abantu ba Kabaka...
Abantu abaliko obulemu ku bwongo obumanyiddwa nga Celebral Pulsy mu bendobendo lye Masaka bekubidde enduulu eri abakwatibwako, babateerewo enkola ezinaabayamba okutuusibwako obuweereza obwenjawulo, mu kifo ky'okubasososola olw'embeera zabwe. Bagamba nti...
Munnamateeka era omukulembeze w'ekibiina ky'ebyobufuzi ki Peoples Front for Freedom Ssaalongo Elias Lukwago aweereddwa ekitanda mu ddwaliro ekkulu e Mulago, atwaliddwayo ekitongole ky'amakomera. Omulamuzi wa kkooti ento e Makindye Sarah...
President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa akinogaanyizza nti tewali munnauganda yazuuliddwamu kirwadde kya Ebola munnaku 5 eziyise. President agambye nti n'abantu ababadde baloondoolwa, bano nga baalina akakwate ku bantu abaasooka okukwatibwa...
Government ya Uganda egaddewo ensalo zaayo ne ginqayp eya Democratic Republic of Ugandaokutangira okusaasaana kw’ekirwadde kya Ebola okumala omwezi mulamba. Kigambibwa nti ekirwadde kya Ebola kyongedde okulanda mu bannansi ba...
Government ya Uganda eyimirizza ennyonyi zonna ezibadde zigenda n’okuva mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo okuyingira Uganda, saako emmotoka endala ezisaabaza abantu n'amaato ku mazzi naddala ku mugga Ssemuliki,...
Government ya Uganda erangiridde nti egenda kufuula eddagala lya Nalubiri (Sicklecell) ery’Enkizo mu malwaliro gaayo gonna, kiwe Omwagaanya abalwadde ba Nalubiri okufuna obujjanjabi obusaanidde mu budde. Enteekateeka eno eyanjuddwa Omutesiteesi...