Uganda ekomekkerezza olugendo lwayo olw’empaka z’emizannyo gya Commonwealth Games 2026 e Glasgow Scotland, ng’efunye emiddaali 3 gyokka.
Uganda ewangudde omudaali gumu gwokka ogw’ekikomo mu muzannyo gw’emisinde, ekintu ekibadde kirudde okubaawo.
Uganda ebadde ewezezza emyaka 20, ng’ewangula omudaali gwa zaabu mu misinde, wabula ku mulundi guno yalemereddwa okuwangulayo zaabu mu misinde gino.
Omudaali gwokka Uganda gwe yawangudde mu misinde, gubadde gwa Peruth Chemutai gwe yawangudde mu misinde gya mita 3000 eza Steeplechase.
Wabula omugatte Uganda yawangudde emidaali 3, okwabadde n’ogwokuwuga okuva ewa Husnah Kukundakwe ogwa feeza.
Ttiimu y’ensero ey’abakazi nayo yawangudde omudaali gwa feeza olw’okukwata ekifo eky’okubiri.
Australia ye yesinze okuwangula emidaali emingi mu mpaka ez’omulundi guno giru 171, Bungereza ekutte kyakubiri ne midaali 110, Canada 63, India n’abategesi aba Scotland bonna basibaganye ku midaali 39 nabalala ne bagoberera.
Biwagiddwa: Isah Kimbugwe








