President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, yeewanye nti government gy’akulembera okuzza emirembe mu bukiika kkono bw’eggwanga, kyongedde enkulakulana okunyinyitira mu bitundu bino ng’abantu bakola emirimu awatali kutya.
Mzee Museveni ategezeezza nti mukusooka ekitundu kino kyali kifumbekeddemu entalo ezaaletebwa abayeekera okuli Joseph Konny ne Alice Lakwena, nti wabula okuva lweyabalinnya ku nfeete abantu mu kitundu kino bakoze bingi ebikyusizza obulamu.
Okwogera bino President Museveni asinzidde mu lukungaana lw’akulira ebitongole byabaneekolera gyange olw’okutaano olwatuumiddwa 5th Bi Annual Private Sector CEO Retreat ku Serana Hotel, olutambulidde ku mulamwa ogw’okukyuusa ekitundu ky’okubukiiko kkono okufulibwa etambiro y’ebyenfuna n’obusuubuzi.
President Museveni asabye banna Uganda okwettanira enkola ya Parish Development Model, bwebaba bakuva mu bwavu.
Museveni agumiza bana Uganda nti government ye essira egenda kuliteeka ku kuzimba eggaali y’omukka okwanguyiza abasaabaza eby’amaguzi okubituusa ku katale, oluvanyumwa lw’okukizuula nti entambula ku nguudo ya kasooba olw’akalippagano k’ebidduka.
Minister Omubeezi ew’ensonga z’obukiika kkono bwe ggwanga, Dr. Keneth Omona, abuulidde President Museveni nti ekitundu kino kikyuse nnyo ne mu byenfuna bwogerageranya nebwekyaali mu myaka 20 egiyise.
Ssentebbe w’olukiiko olufuzi olwa Board ya Presidential CEO Forum, Emmanuel Katongole, ategezeezza nti waliwo ebituukiddwako mu baneekolera gyange okuva omukago guno bwegwatandikawo.
Omukwanaganya w’emirimu mu Prisedential CEO Forum Irene Birungi Mugisha ategeezezza nti batalaaze district z’obukiika kkono okuli Nebbi, Yumbe, Agago, Lira Oyamu n’endala n’ekigendererwa eky’okusomesa abantu kungeri y’okwekulakulanya.
Olukungaana luno lwetabiddwako ssabaminister Robina Nabbanja Musaafiiri, ba Minister, omutesitesi mu Ministry ye by’ensimbi Ramathan Goobi, abakulembeeze okuva mu bitundu by’obukiiko kkono n’abalala.#