Kaliisoliiso wa government asabye kooti ereme kuyiimbula bakozi ba parliament ku kakalu ka kooti abavunaanibwa emisango gy’obulyake n’obukenuzi, ng’agamba nti singa bayimbulwa bayiinza okutaataaganya obujulizi.
Abavunaanibwa 7 okuli eyali akulira eby’amawulire mu parliament Chris Obore, Methodius Mureebe, Daniel Adilo, Rajab Kaaya, Leonard Okema, bavunaanibwa emisango egiwera okuli ogw’obulyake n’ebukenuzi, okukusa ensimbi, okufiiriza government ensimbi ezisoba mu buwumbi bwa shs 27 n’okukozesa obubi ensimbi za parliament.
Nga bayita mu bannamateeka babwe basabye kooti ebayimbule ku kakalu kaayo, nti kubanga ddmebe lyabwe okuyimbulwa ku kakalu, batuuze abalina amaka gyebasobola okusangibwa nga babeetaaze, ate nga betegefu n’okugondera obukwakkulizo bwonna obunaabaweebwa.
Wabula bannamateeka ba wofiisi ya Kaliisoliiso nga bakulembeddwamu Daisy Acio,bategeezezza omulamuzi Michael Elubu nti abantu abo tebasaanidde kuteebwa kubanga bajja kutaataaganya obujulizi, nti kubanga n’okunoonyereza ku misango egibavunaanibwa kukyagenda mu maaso.
Kaliisoliiso wa government agamba nti n’ebiwandiiko byebaleesa byebesigamako okusaba akakalu tebituukiridde.
Omulamuzi ataddewo olwa nga 09 September,2026 lwanaawa ensala ku kusaba kwabwe okw’okuyimbulwa ku kakalu ka kooti.
Bisakiddwa: Betty Zziwa







