Police y’ebidduka, ekutte abagoba ba bus 51, abagambibwa okusangibwa nga bavuga ebidduka bino nga tebalina bipalatti oba route chats, ebirambika enguudo zebalina okuvuga, ate abalala bakwatiddwa lwakusangibwa nga tebalina bisaanyizo birambikiddwa mu mateeka.
Police y’ebidduka egambye nti ku bano 41, tebasangiddwa na bipalatti oba route chats zabwe, sso nga ziyamba kinene mu kumannya obudde kwebatambulira okwewala okuvuga eddima, olussi ezivaako obubenje.
Abalala 5 basangiddwa nga tebalina bifaaananyi mu mmotoka zabwe, sso nga bakimanyi nti balina okubeera nabyo ku mitto gyabwe nga bavuga, 3 tebabadde nabbaagi ate 2 bakwatiddwa lwakuvuga bus nga tebalina permit zibakkiriza n’e misango emirala.
Omwogezi wa police ye bidduka mu ggwanga, Micheal Kananura, bwabadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe kya police e Naguru, ategeezezza nti tebagenda kuba nakisa kyonna eri bagoba ba bidduka abamenya amateeka ku nguudo, mu kawefube gwebaliko ow’okumalawo obubenje.
Mungeri yeemu Kananura ategeezezza nti nabagoba ba bus abamu abatawummula babataddeko amaanyi agenjawulo, kuba nabo bavuddeko obubenje okweyongera kunguudo ezitali zimu, sso nga ne motoka ziganyegenya saako ezifira ku nguudo ne batateekawo bupande bulaga, banyuni zzo bakuvunanibwa.
Agambye nti nabagoba abatikka akabindo babataddeko amaaso, kwekusaba bonna okugoberera amateeka.







