Wabaluseewo okukubagana empawa ku kiseera ekituufu ebibuga government byeyasuumusa okufuuma ebibuga lwebirina okutandika okukola mu butongole.
Amatankane gano gali wakati wa ministry y’ebyensimbi omuli omuteesiteesi omukulu mu ministry eno era avunanyizibwa ku ggwanika ly’eggwanga ery’ensimbi Ramathan Goobi ,minister we ow’ebyensimbi Matia Kasaija saako ssabaminister w’eggwanga Robinah Nabbanja nga buli omu ayogera bikontana ku nsonga eno.
Obutakwatagana buno namatankane bireeseewo okusoberwa mu bannansi naddala abantu abawangaalira mu bitundu ebyo, ebirina okufuuka ebibuga.
Kuliko district ye Wakiso , Nakasongola, Moroto, Kabale ne Entebbe ebyalina okutandiika okukola ng’ebibuga ebujjuvu mu mwaka 2023 oluvanyuma parliament okubikakasa, wabula nebitatandika olw’ebbula ly’ensimbi ne noongosereza mu mateeka agafuga eby’okulonda mu ggwanga.
Ssabaminister w’eggwanga Robinah Nabbanja ennaku ntono eziyise, yabuulira parliament nti ebibuga bino enteekateeka zikolebwa bitandiike okukola ng’ennaku zomwezi 01 July,2025 ng’eggwanga lyolekera akalulu k’omwaka 2026, bisobole okulonderwamu abakulembeze.
Ensonga yebibuga bino okutandiika okukola ngennaku zomwezi 1 July, 2025 ,yakaattiriziddwa minister w’ebyensimbi Matia Kasaija ku mukolo gw’okuteekateeka embalirira y’eggwanga ogwabadde e Munyonyo ku speke resort.
Wabula oluvanyuma lw’emikutu gyamawulire okuwandiika ebyoyogeddwa minister Kasaija, Ramathan Goobi yagenze ku kibanja kye ekya X naawakanya ebyabadde biwandiikiddwa naagamba nti minister we Matia Kasaija tanabyogerako.
Wabula ministry y’ebyensimbi ngeyita ku kibanja kyayo ekya X, efulumiza okulungamya nti ekiseera ebibuga bino kyebinatandikiramu okukola mu butongole tekinasalibwawo, wakyaliwo okwebuuza okukyagenda mu maaso ,bwekunaaba kuwedde eggwanga lyakutegeezebwa
Ssaalongo Michael Kakembo Mbwatekamwa Omubaka wa municipali ye Entebbe ng’eno yeemu ku bitundu ebisuubirwa okufuuka ebibuga agambye nti bbo bakutwala ebyayogerwa ssabaminister ne minister Matia Kasaija nti bituufu era batandike okweteekateeka.#