Minsiter w’ebyentambula n’enguudo Fred Byamukama, awadde kkampuni y’Abachina eya CICCO, ekola oluguudo olwa Kira-Kasangati-Matugga road, nsalesale wa July wo mwaka ogujja ogwa 2027, ngomulimu guno bagugyeko engalo, era balukwase bannauganda.
Omulimu gw’okukola oluguudo luno oluweza kilometers 21 gwatongezebwa omukulembeze w’eggwanga mu December wa 2020, nga lwalina okumalirizibwa mu mwaka gwa 2024.
Mu kiseera kino oluguudo luno lwakakolwako ebitundu 40% byokka, ne bitundu 65% ku kuliyirira abatuuze abalinako ettaka.
Kampani y’Abachina eya CICCO eyapatana omulimu gw’okuzimba oluguudo luno, basanze akaseera akazibu okumatiza minister ekikyalemesezza oluguudo luno okuggwa, nga bakira bekwasa ensonga ezenjawulo, Minister zaakubyemu ebituli.
Minister Fred Byamukama, ategeezezza nti yafunye alipoota okuva mu batuuze nti waaliwo n’ekkobaane ery’okuwa ekyogyamumiro ku muwendo gw’abantu abaaliyirirwa kuttaka ewagenda okuyita oluguudo luno, ngakino kyakolebwa wakati w’abagagga n’abamu ku bakozi ba ministry gyakulembera.
Minister Byamukama yegatiddwako n’abakulembeze b’omukitundu kino nga balambula oluguudo luno, era omubaka omukyala owa district ye wakiso, Betty Ethel Naluyima, yeebazizza minister olwokusitukiramu okulaba embeera eri ku luguudo luno, kyoka naye nakyomera ba contractors okukola ng’emirimu mu ngeri ya gadibe ngalye.
Oluguudo luno olwa Kira-Kasangati –Matugga, lwabalirirwa okuwemmenta obuwumbi obusoba mu 200, wabula nga kati lututte emyaka mukaaga nga teruggwa.
Lwalina okugwera mu bbanga lya myaka ebiri, nga wano minister waasinzidde naawa kampani ya bachina eno eya CICO nsale sale wa mwezi ogw’omusanvu omwaka ogujja 2027 okubanga balumalirizza.
Manager wa kampani y’Abachina eya CICO ekola oluguudo luno, Moon, akakasizza nga bwebagenda okuteeka mu nkola ebibagambiddwa, era basuubira nsale sale wanagwerako ng’omulimu guwedde.
Bisakiddwa: Nnabagereka Edithie







