Government erangiridde nti etandise ku nteekateeka z’okussa ennamba oba obulambe ku buli nnyumba okwetoloola e ggwanga lyonna, okusobozesa abantu okutambuza ebiwandiiko byabwe obulungi, okutuusibwako obuweereza obwenjawulo, ate n’okubalondoola mu bifo gyebasula okumalawo obumenyi bwa mateeka.
Enteekateeka eno ekulembeddwamu ekitongole kya government ekya posta Uganda, nga abakulu bagamba nti wajjakuba tewakyali muntu asobola kubula oba okugamba nti tamanyiddwa gyabeera.
Government egambye nti mu bitundu nga Entebbe program eno egenda mu maaso, era bwebanaaba bamumaliriza bakugitambuza ne mu bitundu ebirala ebirimu amayumba agategekeddqa obulungi, n’ekigendererwa eky’okusitula omutindo gwobuwereza mu kitongole kya posta Uganda.
Bino byanjuddwa minister avunanyizibwa ku byamawulire n’okuluηamya eggwanga Justine Kasule Lumumba.
Minister Lumumba abadde atongoza enteekateeka namutayiika ey’ekitongole kya Posta Uganda gyekigenda okutambulizaako obuwereza mu banga ery’emyaka etaano egijja.
Mu ngeri yeemu Lumumba agambye nti mu bifo awatali posta Uganda office, bateekateeka okuziteekayo okulaba nga obuwereza ne bigendererwa byabwe ebyokussa namba ku buli nnyumba bivaayo bulungi.
Ssenkulu w’ekitongole kya posta Uganda James Arinaitwe agambye nti bagala okukozesa omukisa gwa techologiya aliwo okutumbula enkola ya Address zino, era abantu bagenda kubeera ba ddembe n’okukozesa essimu zabwe okuzikebeera ku mitimbagano.
Nalongo Benny Namugwanya nga atuula ku lukiiko olufuzi lwa Posta Uganda, nyaye asinzidde wano nagamba nti bagala okusembereza obuwereza okumpi n’abantu, era kati ebitongole bya government ebisinga bigenze biteeka wofiisi okumpi ne posta Uganda nga URA, URSB ne NIRA saako ebirala bingi.#








