Abantu basatu bebaakafa n'abalala abaakunukkiriza mu 80 bali ku ndiri mu malwaliro agenjawulo mu kibuga Jinja, oluvannyuma lw'okulya emmere eteeberezebwa okubaamu obutwa. Kiteeberezebwa nti emmere eno baajirya mu kuziika County...
Omuntu omu attiddwa Envubu mu muluka gwe Ggulwe mu bizinga bye Bussi mu district ye Wakiso, bwabadde agenze okuvuba. Attiddwa ye Lukwago Paulo myaka 32, alumbiddwa envubu ekubye eryato mwabadde...
Akakiiko k'eddembe ly'obuntu mu district ye Wakiso kalambudde ekkomera ly'e Kitalya erisangibwa mu Wakiso gyebasanze omijjuzo gw'abasibe, nga kyeraliikiriza naabalikulira. Akakiiko kano kabadde kalambula embeera abasibe gyebabeeramu mu kkomera lino...
Abaddukanya amaka agalabirira abaana abataliiko bazadde babwe okuli Nsambya Babies Home ne Sanyu Babies Home basabye government ebayambeko ku mulimu gw’okulabirira abaana bano nga babawa ebimu ku bikozesebwa. Barbra Mutagubya...
Police mu kibuga Masaka ekutte omugoba wa bodaboda ateeberezebwa okuba nga yasse omukyala abadde akola business ya Mobile money mu kibuga Masaka. Eyatiddwa ye Nakatudde Jackie amanyiddwa nga Maama Owen...
Nnabbambula w'omuliro asaanyizzaawo ebintu by'abatuuze mu kitundu ekiyitibwa Gwowonyeggere mu bitundu bye Masajja ku njegoyego za Kampala. Omuliro ogutandise ku ssaawa nga mwenda ez'ekiro gukutte amadduuka n'ennyumba z’abantu ezisulwamu. Kiteeberezebwa...