Eklesia y’Abasoddookisi mu Uganda ekungubagidde abadde omubaka omukyala owa District y’e Kalangala Hellen Nakimuli, ng’ono ye mubaka yekka Omukristiaano Omusoddookisi Omuteefu abadde asigadde mu parliament.
Mu parliament eye 11 babaddeyo babiri ne Theodore Ssekikubo, wabula ono yawangulwa mu kalulu akayise aka 2026.
Ssaabasumba w’Abasoddookisi mu Uganda Metropolitan Jeronymos Muzeeyi agambye nti okufa kwa Nakimuli kubakubye encukwe, era asaasidde nnyo Rev Fr. Christopher Walusimbi Kweba ( Omwami wa Kabaka akulembera Ssese) eyawummula.
Ssaabasumba alangiridde nti Eklesia yaakusabira Nakimuli ku Thursday nga 23 April,2026 ku St.Nicholas e Namuηηoona.

Ssaabasumba Muzeeyi asinzidde mu lukuηaana lwa bannamawulire,naatendereza Hellen Nakimuli olw’okubeera omubaka ow’eddoboozi era atasirika ng’eddembe ly’abantu lityoboolwa.
Ssaabasumba awanjagide ababaka ba parliament obutasirika nga banna Uganda banyigirizibwa, balabire ku mugenzi bw’abadde eddoboozi ly’abanyigirizibwa.
Ssaabasumba agambye nti bali mu kutya nga aba Orthodox kubanga kati eddoboozi lyabwe liyinza obutaddamu kuwulirwa mu parliament kubanga abadde abalwanirira agenze.
Bisakiddwa Lukenge Sharif











