Olwaleero ennaku z’omwezi ziri 13 February,2024 lunaku lwansi yonna olwassibwawo ekibiina ky’amawanga amagatte olw’okwefumiitiriza ku ngeri Radio gyeyambyemu okukyusa obulamu bw’abantu.
Eddoboozi lya radio eryasookera ddala ku mpewo lyafuluma nga 13 May,1897, nga lyafulumizibwa munnascience omu Italy Guglielmo Marconi.
Mu biseera ebyo ebyempuliziganya munsi yonna kwali kusoomosebwa kw’amaanyi olw’obutabeera na mikutu gituusa mawulire ku bantu butereevu.
Omuntu okutuusa amawulire kubalala yalina nga kugenda gyebali butereevu oba okukozesa obubaka obuwandiike mu bbaluwa n’ebirala.
Wabula emirembe bwejajja gikyuuka Saako enkulakulana mu technology nebyuma bikalimagezi, radio yatandiika era ensasaana y’amawulire okwetoolola ensi yeyongere okubeera ennyangu.
Mu Uganda Radio Uganda eya government yeyasookera ddala okuweereza bannansi.
Ebiseera gyebyeyongedde emikutu gyobwanannyini omuli ne CBS FM gyatandiika.
Mu kiseera kino Uganda erina emikutu gya Radio egisoba mu 150.
Enkyukakyuka mu technology ziyambyeeko nnyo munkulakulana ya Radio nga kati omuntu asobola okuwuliriza radio nga yeyambisa ebintu ebyenjawulo omuli radio set, essimu, computer, ku ssaawa eyo kumukono n’ebirala.
Wuliriza CBS FM 88.8 ne Emmanduso 89.2 ku www.cbsfm.ug
Olunaku luno olwa lutukidde mu kiseera nga waliwo okusoomozebwa ku mikutu gya Radio egitali gimu omuli obutabeera nansimbi zimala kukola mirimu, obwetengereze mu mpeereza ye mikutu gino n’ebirala.
Ebiseera ebisinga emikutu gya Radio nabagiwerezaako basanga besanga nga Bali mu kusoberwa olwobukwakulizo obubateekebwako zi government z’amawanga ebikosa obuweereza bwa Radio.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius