Abayizi 14,879, beebaagudde ebibuuzo bya S.4 ebyatulibwa omwaka oguwedde 2023, kwabo abayizi emitwalo 364,469 abaatula ebibuuzo bino.
Abayizi bano basuubirwa okuddamu okutuula ebibuuzo ebigenda okuteekebwateekebwa UNEB mu June ne July 2024, olwa curriculum gyebabadde basomerako okudibizibwa.
Ssentebe w’olukiiko olukulembera UNEB, Prof Celestino Obua, agambye nti newankubadde wabaddewo okukola obulungi, wakyaliwo okusoomoza mu nkola y’amasomo agatali gamu.
Agambye nti abaana bokka abeewandiisa nebatatuula, abaakoze nebagwa, abaalina okubikola naye nga tebeewandiisa olw’ebbula ly’ensimbi bokka bebagenda okukkirizibwa okutuula ebigezo ebyenjawulo mu mwezi gwa June 2024.
Abayizi emitwalo 364,467 bebatuula ebigezo omwaka oguwedde 2023, mu bifo ebisoba mu 3000 okwetoloola eggwanga.
Abaana emitwalo 64,782 bayitidde mu daala erisooka, emitwalo 8 5,566 bayitidde mu daala lyakubiri, emitwalo 83,545 bayitidde mu daala lyakusatu, ssonga abayizi emitwalo 11 2,923 bayitidde mu ddaala lyakuna.
Abayizi baakoze bulungi amasomo okuli oluzungu, eddiini, okubala ne biology, ssonga amasomo okuli history, ebyobulimi nobulunzi, ne physics gaddiriddemu bwogerageranya nebwegabadde gakolebwa emyaka egiyise.
Okutwalira awamu abalenzi bakize ku bawala okuyita obulungi ebigezo, wabula abawala baasinze abalenzi mu luzungu. Abalenzi baleebezza abawala mu masomo nga commerce, sciences, History ne Geography ne chemistry.
Dan Odongo, ssenkulu w’ekitongole kya UNEB bwabadde asoma ebyavudde mu bigezo bino ngaasinziirira mu maka g’obwa president e Nakasero, agambye nti abayizi beeyongedde okukola obulungi nokudamu ebibuuzo obulungi.
Dan Odongo era agambye nti wakyaliwo okusoomozebwa kwokuyita obulungi amasomo ga science, nga abaana ebitundu 40% balemereddwa okugayita ssonga abayizi ebitundu 20% bebayise amasomo okuli Physics ne Chemistry.
Dan Odongo agambye nti obuzibu bukyali mu masomero agamu obutaba nabasomesa ba science, obutaba nabikozesebwa bimala mu masomo goobwoleke, abamu tebasobola kusoma bibabuuzibwa nebabitegeera.
Minister w’ebyenjigiriza Janet Kataha Museven alangiridde nti okusunsula abanaayingira S.5 kwakubaawo wakati wa 26 ne 27 February (February),2024.
Abayizi aba S.5 baakutandika okusoma term esooka nga 11 March,2024.
Bisakiddwa: Ddungu Davis