Akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu district ye Wakiso kalambudde ekkomera ly’e Kitalya erisangibwa mu Wakiso gyebasanze omijjuzo gw’abasibe, nga kyeraliikiriza naabalikulira.
Akakiiko kano kabadde kalambula embeera abasibe gyebabeeramu mu kkomera lino erya government erya Kitalya Mini Max prison.
Okusinziira kubaddukanya ekkomera lye Kitalya, lirina okubaamu abasibe 2000, wabula mu kiseera kino mulimu 2,792.
Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso Elly Kasirye asiinzidde wano n’asaba bekikwatako mu government okusala amagezi okulaba nga omuwendo guno gukendeera.
Agambye nti balina kussa ssira mu kutondawo amakubo agayambako bannauganda naddala abavubuka obutenyigira mu buzzi bw’emisango,
Omuli okwongera amaanyi mu byenjigiriza okutondawo emirimu n’ebirala.
Elly Kasirye era asiimye omulimu ogukoleddwa ekitongole ky’amakkomera mu ggwanga okusaawo obukulembeze obuvunanyizibwa ku ddembe ly’obuntu mubasibe wamu n’okwongera amaanyi mu byenjigiriza nga bawa abasibe obukugu mu by’emikono.
Mukwogerako n’abamu kubakulu abatwala ekkomera lino abataagadde kwatuukirizibwa bibakwatako, bagamba nti basanga okusomoozebwa okuva mu bitongole bwebakola emirimu omuli essiga eddamuzi ne police olw’okulwawo okunoonyereza n’ekiviirako abasibe bangi okulwa mu makomera nebaleeta omujjuzo.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo