Abaddukanya amaka agalabirira abaana abataliiko bazadde babwe okuli Nsambya Babies Home ne Sanyu Babies Home basabye government ebayambeko ku mulimu gw’okulabirira abaana bano nga babawa ebimu ku bikozesebwa.
Barbra Mutagubya owa Ssanyu Babies Home agambye nti mu kiseera kino balina okusoomoozebwa kw’amasannyalaze gebasaasaanyizaako ensimbi obukadde bubiri buli mwezi, kyagambye nti kibakaluubiriza.
Mutagubya agambye nti batandise ku nteekateeka y’okunoonya ensimbi obukadde 177 okugula ebyuma ebisunda amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba.
Barbra Mutagubya agamba nti enteekateeka yonna ey’okugula ebyuma bya Solar yakuwemmenta ensimbi obukadde 353 nga ku zino waliwo abazira kisa abaabawaako obukadde 176.
Mu kiseera kino amaka ga Sanyu Babies Home gakuuma n’okulabirira baana abato abali wansi w’emyaka 6 abasoba mu 50.
Kampuni ya bannamateeka eya MMAKS Advocates abakulembeddwamu Owek Apollo Nelson Makubuya bakyaliddeko ku baana abakuumibwa mu maka gano nebawaayo obuyambi obwenjawulo.
Bawaddeyo emmere, ssabbuuni, engoye, ppampa, ensimbi enkalu n’ebirala ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo.
Owek. Apollo Makubuya agambye nti kino bakikola buli nga 14 February buli mwaka, ng’akabonero k’okulaga omukwano era abaana bano abasuulwa awo ettayo.
Amaka ga Ssanyu Babies Home agalabirira abaana abato gaatandikibwawo mu 1929, omuzungu Winfred Walker eyali omusawo mu Mengo Hospital, eyalaba obwetaavu bw’okuyamba abaana abaali basuulwa bannakazadde.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K