Alipoota ya police ekwata ku bumenyi bw’amateeka eya wiiki emu raze nti abantu abasoba mu 800 baakwatiddwa mu bitundu bya police 18, nga Kampala yeeridde empanga mu bamenyi b’amateeka. Okusinziira...
Kyadaaki police mu Kampala némiriraano emmundu eyali yabbibwa ku musirikale mu bitundu bya Kafumbe Mukasa road mu Kisenyi. Police ekoze omuyiggo nebasanga nga yasuuliddwa ku kasasiro, oluvanyuma lwábantu abakolera ku...
Entiisa egudde mu kitundu kye Kayabwe mu district ye Mpigi, omukuumi w'emmotoka bwagipakuddewo n'emulemerera okusiba, okukakkana ng'atomedde abaana 2 naabatta, omwana omulala alumiziddwa. Enjega eno eguddewo ssaawa nga bbiri ez'ekiro...
Alipoota y'akakiiko akalezi k'eddembe ly`obuntu mu ggwanga, aka Uganda Human Rights Commission, eraze nti embeera abasirikale ba police mwebakolera emirimu yebaviirako okuva mu mbeera nebakozesa obukambwe obutetagisa ku bannansi. Alipoota...
Obusumba bw’e Najjanankumbi mu kkanisa y’Abadiventi mu Uganda bwanjulidde Katikkiro wa Buganda enteekateeka z’okujaguza emyaka 75 nga babuulira enjiri ya Kristo ey’obulokozi. Nga bakulembeddwamu Omusumba w’Obusumba buno, Noah Ssekitto beeyanzizza...
Abamu ku ba mmemba mu kibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society bateekateeka okuzira omukolo gw'essiga eddamuzi, ogw'okutongoza omwaka gw’amateeka omuggya ogutegekeddwa ku friday nga 09 February,2024 ku kitebe ky’ekitongole...
Omulamuzi Julia Ssebutinde munnauganda atuula mu kkooti y'ensi yonna etaawulula entalo n'obutakaanya wakati w'amawanga eya International court of Justices, alondeddwa okubeera omumyuka wa president wa kkooti eno. Ekifo kino wakukiweererezaamu...