Nnabbambula w’omuliro asaanyizzaawo ebintu by’abatuuze mu kitundu ekiyitibwa Gwowonyeggere mu bitundu bye Masajja ku njegoyego za Kampala.
Omuliro ogutandise ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro gukutte amadduuka n’ennyumba z’abantu ezisulwamu.
Kiteeberezebwa nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze.
Police y’abazinnyamwoto erwanaganye nagwo okumala essaawa eziwezeeko okuguzikiza.#