Abantu basatu bebaakafa n’abalala abaakunukkiriza mu 80 bali ku ndiri mu malwaliro agenjawulo mu kibuga Jinja, oluvannyuma lw’okulya emmere eteeberezebwa okubaamu obutwa.
Kiteeberezebwa nti emmere eno baajirya mu kuziika County Khadhi we Kagoma mu Jinja Shek Ahmed Magumba ku Tuesday nga 13 February,2024, ku kyalo Bukasami mu gombolola ye Buyengo.
Rdc e Jinja Gulume Richard ng’akulembeddemu police n’abasawo abakugu bali mu kitundu okwetegeereza embeera n’okufuna sitaatimenti ku bali mu malwaliro.#