Police mu kibuga Masaka ekutte omugoba wa bodaboda ateeberezebwa okuba nga yasse omukyala abadde akola business ya Mobile money mu kibuga Masaka.
Eyatiddwa ye Nakatudde Jackie amanyiddwa nga Maama Owen abadde omutuuze we Kisuuna Kimaanya Kabonera mu kibuga Masaka.
Kigambibwa nti owa Bodaboda ono amanyiddwa nga Taata Noline bulijjo y’abadde avuga omukyala ono okumuzza ewaka ng’annyuse, wabula ku mulundi guno olwamutuusizza ewaka n’atandika okwenyoola naye, tebategedde byazeeko, wabula bagenze okukwata ky luggi lw’ekisenge kyabwe nga babasibidde munda.
Baliraanwa bakedde ku makya balabye oluggi lusibire ebweru ate ng’abaana bebatera okulaba nga bakeera ku ssomero ku luno babadde tebabalabye.
Bagenze okuggulawo ekinyonyolo kwekugwa ku mulambo gw’omukyala.
Police eyitiddwa n’eggulira abaana abannyonyodde ebyabaddewo.
Omwogezi wa police e Masaka Asp Twaha Kasirye agambye nti ku badduukirize abazze kubaddeko owa bodaboda ono, era embwa ya police ekonga olusu gweyeziinze nemwetoloola, era nebamukwata, oluvannyuma embwa yeemu ebakulembeddemu nesibira ku kazigo ke.
Yo essimu y’omukyala kw’abadde akolera mobile money n’ensimbi zeyabadde nazo tebirabikako.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja.