Abamu ku ba mmemba mu kibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society bateekateeka okuzira omukolo gw’essiga eddamuzi, ogw’okutongoza omwaka gw’amateeka omuggya ogutegekeddwa ku friday nga 09 February,2024 ku kitebe ky’ekitongole ekiramuzi.
Enteekateeka eno bagamba nti evudde kukusalawo kwa kkooti enkulu okwafulumiziddwa, okulemesa olukiiko lwabwe olwa Extra Ordinary General Meeting olwabadde lwagala okuteesa ku bwetwaze bw’essiga eddamuzi wamu n’ensonga endala ezibaluma.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Musa Ssekaana yayimirizza olukungaana lwa bannamateeka, ng’agamba nti luyinza okuvaako okuyisa ebiteeso ebimenya amateeka.
Omwaka gw’amateeka omuggya gwe mukolo ogusinga obunene buli mwaka mu ssiga eddamuzi ogugatta abakulu bonna, okuva mu masiga asatu aga government.
Ku mukolo guno Ssaabalamuzi awa embalirira ku bye bakoze ne bye bagenderera okukola mu mwaka omuggya.
Mu kiwandiiko kyabwe, bannamateeka okuli Eron Kiiza, Jude Byamukama, Daniel Walyemera, Sarah Kasande, Phillip Karugaba, Peter Arinaitwe, Anthony Odur, Isaac Ssemakadde ne Frank Kanduho bavumiridde ekiragiro kino ekibakugira okwogera n’okuteesa ku nsonga z’obwetwaze bw’essiga eddamuzi n’ensonga endala ezibaluma.
Omulamuzi Ssekaana okuyisa ekiragiro kino yasiinziira mpaaba yoomu ku bammemba ba Uganda Law Society Brian Kirima, ng’agamba nti singa olukungaana luno lugenda mu maaso lwali luyinza okuvaamu ebizibu.
Mu mpaaba ya Kirima mu kkooti, yategeeza nti olukungaana ng’olwo luyinza okuvaako okuyisa ebiteeso ebitakoma ku kumenya mateeka na kunyiiza balala, naye lwali luyinza nookuleeta obuswavu n’okuswala mu bannamateeka.
Okusika omuguwa wakati wa bannamateeka n’essiga eddamuzi kusibuka ku bbaluwa President Yoweri Museveni gye yawandiikira Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo ku bikwata ku omusango gw’ebintu bya Uganda Muslim Supreme Council (UMSC) n’omusuubuzi Justus Kyabahwa.
Mu bbaluwa eno President yali yebuuza engeri omulamuzi gy’ayinza okufulumya ekiragiro ekiwa omuntu olukusa okutunda omuzikiti gw’eggwanga.
Wano bannamateeka kwebaasinziira okwagala okuyita olukungaana lwabwe olw’enjawulo okukubaganya ebirowoozo ku ngeri emirimu gyabwe gyegitmbulamu, obwetengereze bw’essiga eddamuzi n’okutuusa obwenkanya eri abantu bonna.
Bisakiddwa: Betty Zziwa