Obusumba bw’e Najjanankumbi mu kkanisa y’Abadiventi mu Uganda bwanjulidde Katikkiro wa Buganda enteekateeka z’okujaguza emyaka 75 nga babuulira enjiri ya Kristo ey’obulokozi.
Nga bakulembeddwamu Omusumba w’Obusumba buno, Noah Ssekitto beeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okukulemberamu obulungi abantu be awatali kwawula mu ddiini, eggwanga n’ebirala mu nteekateeka ezitumbula embeera z’abantu.
Ekkanisa y’e Nnajjanankumbi yakujaguza emyaka 75 egy’obuweereza nga 24 March,2024.
Ku lwa Katikkiro, Minister w’ettaka n’ebizimbe mu Buganda Owek. David Mpanga yeebazizza Obusumba buno olw’enteekateeka y’ekijaguzo kino, mwebagasse obuweereza omuli olusiisira lw’ebyobulamu, omwoleso n’okukola bulungibwansi, byagambye nti byonna biyambira wamu abantu ba Kabaka.
Owek. Mpanga akinogaanyizza nti Obwakabaka n’ekkanisa bonna baweereza abantu beebamu kubanga bonna bantu ba Kabaka.
Omusumba Ssekitto n’ekibinja ky’azze nakyo embuga, basabye Katikkiro aggulewo olusiisira lw’ebyobulamu olunaatandika nga 18 okutuusa nga 22 March,2024 ku kkanisa e Najjanankumbi.
Mu lusiisira luno baakukebera n’okujjanjaba endwadde eziwerako omuli, kkookolo, nnalubiri, omusujja, amaaso n’endwadde endala.
Baakutandika n’okukola bulungibwansi mu katale ka Ssaabasajja e Kibuye.
Omumyuka wa Ssaabawandiisi wa NRM mu ggwanga era omu ku bateesiteesi b’ebijaguzo bino, Rosemary Namayanja Nsereko agambye nti babadde tebalina ngeri yonna gyebayinza kujaguzaamu nga tebasoose kuloopa mbuga.
Ekibinja ekikiise embuga kubaddeko eyaliko mmeeya w’ekibuga ky’e Ntebe Omukadde Steven Kabuye, Omukadde Rechael Guweddeko, n’abalala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K