Eggye lya UPDF lizeemu okulabula abantu ba bulijjo okwewala okwambala ebyambalo by’amagye nti kimenya mateeka.
Omubaka omukyala owa district ye Kitgum Lillian Aber, yalabiddwa ku mikolo egitali gimu ng’ayambadde ebyambalo by’amagye saako okwekubisizaamu ebifanaanyi.
Omubaka yalabiddwako n’abajaasi ba UPDF ab’amadaala agenjawulo nga bakola bulungi bwansi, mu ntegeka y’okukuza olunaku lw’eggye ly’eggwanga olwa Terehe sita.

Omwogezi UPDF Brig Gen Felix Kulaigye agambye nti omubaka Lilian Aber yetondedde amagye era tagenda kuvunaanibwa ,nti okugyako omujjaasi eyamuwadde uniform eno ye yakwatiddwa era agenda kuvunaanibwa, wabula tamwogedde mannya.
Omubaka Lilian Abel okwambala Uniform y’amagye, wabula negamusonyiwa kijjidde mu kiseera ng’abawagizi ba NUP abali eyo mu 30, bagenda kuweza myaka 3 nga bali mu makomera bavunaanibwa emisango gy’okusangibwa nebyambalo by’amagye naddala obukofiira obumyuufu ekibiina ki NUP bwekirumiriza nti bwakyo yadde amaggye gagamba nti bwaago.
Felix Kulaigye agambye nti abawagizi ba NUP bagaana okwetonda, nti singa beetonda ng’omubaka Lilian Aber bweyakoze, bandibadde baasonyiyibwa dda nebayimbulwa mu makomera.#