President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni atadde omukono ku tteeka eriwera okukola okutunda n’okukozesa ebiragalalagala erya Narcotics Drugs and Psychotropics Substances Bill 2023.
Etteeka lino erisiddwako omukono liwera okulima, okutunda n’okulya amayirungi n’enjaga mu ggwanga.
Etteeka lino, parliament yaliyisa omwaka oguwedde nerisindikibwa eri omukulembeze w’eggwanga okulisaako omukono, wakati mu babaka abava mu bitundu ebirimibwamu amayirungi okwemulugunya.
Abateekateeka okulima n’okutunda ebiragalalagala ebyo, balina kusooka kusaba liyisinsi okuva eri ministry y’ebyobulamu, era okulima ebiralalagala ebyo kulina kukolebwa nga kwakkuvaamu ddagala.
Mu tteeka lino, abanesisigaza nebeenyigira mu kulima ebiragalalagala bino ,bakusibwa mu nkomya emyaka egisoba mu 10, songa bannanyini phamarcy oba amalwaliro aganalagira abantu okukozesa ebiragalalagala ebyo bakutanzibwa akawumbi k’ensimbi za Uganda oba okusibwa mu nkomyo emyaka egisoba mu 10.
Mu mbeera yeemu, omukulembeze wegwanga atadde omukono ku tteeka lya Judiciary Act , eryayongeza omuwendo gw’abalamuzi ba kkooti ejjulirwaamu okuva ku balamuzi 15 oguliwo mu kiseera kino okutuuka ku balamuzi 35.#