Alipoota ya police ekwata ku bumenyi bw’amateeka eya wiiki emu raze nti abantu abasoba mu 800 baakwatiddwa mu bitundu bya police 18, nga Kampala yeeridde empanga mu bamenyi b’amateeka.
Okusinziira ku mwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga , abakwate babadde banyakula ensimbi, babba abaweereza ku mobile money, okunyagira ku bodaboda, n’emisango emirala.
Police mu ngeri yeemu eriko Omusajja agambibwa okuba nti abadde anyagira bannansi ku ssimu, nga okusinga abadde akozesa Mobile Money.
Omukwate ye Sabiti Kaporonyo ow’emyaka 48, kigambibwa ntiu abadde akozesa tekionologiya naayingira account za Mobile Money, ng’ensimbi zaabadde yakabba tazimanyi muwendo.
Police era mu Busoga North ne Kamuli ekutte omusajja Mangeni Kasimu omugoba wa Bodaboda, ng’emulanga kwekobaana ne banne abalala 4 nebanyagulula obukadde bwa shs 60 ku mukozi mu emu ku kampuni mu kibuga Jinja.
Mungeri yeemu police mu district ye Palisa ekutte aboluganda 4 olw’Okwekobaana nebatta mulamu waabwe, nga bamuteebereza okutta Mwannyinaabwe.
Asekenyi Ellen kati omugenzi gyebuvuddeko yafiirwa bba oluvannyuma lw’Okutugibwa emmere, kyokka police bweyamusiba neemuta, ng’emaze okuzuula nti yafa mmere eyamutuga tebaakkirizza, kwekusalawo okumutemula.
Bisakiddwa: Kato Denis