Alipoota y’akakiiko akalezi k’eddembe ly`obuntu mu ggwanga, aka Uganda Human Rights Commission, eraze nti embeera abasirikale ba police mwebakolera emirimu yebaviirako okuva mu mbeera nebakozesa obukambwe obutetagisa ku bannansi.
Alipoota eno mu kusooka eyanjuliddwa omumyuka wa speaker wa Parliament Thomas Tayebwa, n`oluvanyuma neyanjuliira ssaabaduumizi wa police Martins Okoth Ochola.
Alipoota eraze nti abasirikale abasinga obungi basula bubi, ennyumba zebasulamu tezisaana kusulamu bantu, zetaaga nakumenyebwa.
Ssentebe w’akakiiko Mariam Wangadya agambye nti abasirikale naddala ab’amaddaala agawansi, eddembe lyabwe ery’okwegazaanyiza mu nsonga z’ekikulu lyabagyibwako dda, kubanga obuyumba bwebasulamu embeera yabwo tebasobozeza, nga nabamu batya okuzaala, kubanga tebalina wakukuliza baana nga babazadde.
Okusinziira ku Alipoota eno, abasirikale abasinga boolesa obukambwe obuyitiridde ku bantu ba bulijjo, naye ng`obuzibu buva ku mbeera gyebabeeramu eteeyagaza.
Ku nsonga za office n’ebikozesebwa abasirikale okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe, Alipoota Eno eraga nti abasirikale bangi tebalina webakolera mirimu, bakolera wansi wamiti, so nga nebikozesebwa tebalina.
Abamu bwebakwata abasibe bakozesa miguwa okubasiba, kubanga n’empingu tebalina.
Bwegutuse ku kusumusa abasirikale mu maddala, Alipoota eno eraze nti okusuumusa abasirikale kukolebwa kwesigamiziddwa mu mawanga, obumanye n`okuttira ku liiso, nabamu okuwaayo ekyogya mumiro.
SACCO y’abasirikale ba police; Alipoota eraze nti abasirikale ba bulijjo tabajiganyuddwamu yadde nakatono, olw`obukwakulizo obungi obwajitekebwako, obulemesa abasirikale bangi okwewola.
Akakiiko aka Uganda Human Rights Commission, kasabye Parliament eyongeze ku nsimbi zeewa police, ezimbire abasirikale baayo ennyumba ez`omulembe, n`okutereeza embeera abasirikale mwe bakolera.
Ssaabaduumizi wa police Martins Okoth Ochola akiikiriddwa Erasmus Twaruhukwa, Director w’eddembe ly`obuntu n’ebyamateeka mu police, bwabadde atongoza report eno etuumiddwa `Squeezing water out of a Stone’ Ku kitebe Kya kakiiko ke dembe ly`obuntu mu Kampala, agambye nti ebifulumidde mu report eno ebisinga bituufu
Wabula awakanyizza ekyokuba nti embeera eyo eteyagaza nti yeviirako abasirikale okutyoboola eddembe ly`obuntu, agambye nti abakikola bakikola ku lwabwe ng’abantu.
Richard Edyegu Director avunanyizibwa ku by`okuzimba mu police, agambye nti omulimu gw`okuzimba ennyumba z’abasirikale bagukutte kannabwala, wabula nga gwagaziyizibwa neguva ku ky`okuzimbira aba police bokka, kati bagattako ennyumba z’abasirikale ba prison wamu n’abakola mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira n’agafuluma eggwanga.
Agambye nti betaaga ennyumba eziwera emitwalo 69,000, era naasaba bamwoyo gwa ggwanga okubawola ssente ezetagisa mu kukola omulimu guno, nabo bazisasule mungeri yakibanja mpola okumala ebbanga lya myaka 10.
Bisakiddwa: Musisi John