Entiisa egudde mu kitundu kye Kayabwe mu district ye Mpigi, omukuumi w’emmotoka bwagipakuddewo n’emulemerera okusiba, okukakkana ng’atomedde abaana 2 naabatta, omwana omulala alumiziddwa.
Enjega eno eguddewo ssaawa nga bbiri ez’ekiro ku nnyumba za Katongole Francisco, nga mu kikomera ky’ennyumba zino mupangisibwamu abantu abawera saako okuterekebwamu emmotoka n’epikipiki naddala mu biseera eby’ekiro.
Omukuumi ategeerekeseeko erinnya limu lya Darius myaka 34 yava mu district ye Mbarara.
Abatuuze bagamba nti waliwo nnyini mmotoka kika kya Rumion No. UBN 249F alagidde omukuumi ono amwoleze ku mmotoka eno amusasule, wabula omukuumi olumaze okwoza kwekusalawo agifulumye ekikomera avugemu.
Emmotoka emulemeredde n’atomera abaana okuli
Mbatudde Asumpta myaka 9 muwala wa Ssekamatte Vincent ne Raudha Nansinkombi myaka 2 n’ekitundu muwala wa Kalanzi Amir n’abattirawo, ate Sseguya Raymond myaka 3 mutabani wa Nalubuulwa Fiona asigadde mu mbeera mbi.
Atomedde n’emmotoka 3 nazo zoonoonese.
Omwana alumiziddwa addusiddwa mu ddwaliro, wamu n’emirambo gitwaliddwa mu ddwaliro lye limu okwongera okwekebejjebwa.
Police ekutte Darius n’emutwala mu kaduukulu kaayo e Kayabwe#