Enteekateeka ya Ssemasomo w’Abalungamya b’okumikolo ow’omulundi ogw’okutaano agguddwawo n’omulanga eri abalungamya okwettanira okusoma ebikwata ku buwangwa n’ennono za Buganda, olwo lwebanaakola omulimu ogubaweesa ekitiibwa n’okukuuma ennono za Buganda nga tezityoboddwa....
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami ba Ssaabasajja Kabaka abaakalondebwa mu bukulembeze ku mitendera gyonna, okubeera abakozi ennyo n'okugoberera ennambika zÓbwakabaka . Asisinkanye abaami b'amasaza n'abamyuka baabwe mu...
Abantu ba Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, bamweyanzizza olwa kaweefube gwatadde mu kukulaakulanya abantu be, ng'ayita mu kubalambika ku nsonga z’enkulaakulana omuli Ebyobulamu, Obwegassi n’Okutumbula ebyenjigiriza, ekiwadde abantube essuubi...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yoomu ku bakabaka ba Buganda aboogerwako ng'ab’ekyewuunyo, kuba kitaawe Ssekabaka Edward Walugembe Luwangula Muteesa II, yamulangirira nti alibeera Kabaka ng'akyali mu lubuto lwa nnyina...