Ekitongole kya Nnabagereka Fund kyegasse ku kaweefube w’okukwasizaako omwana mulenzi Joel Grace Mwanja ow’emyaka 12 ali ku lutalo lw’okulwanyisa omugejjo, asobole okudda mu mbeera entuufu ng’abaana abalala.
Omwana ono Joel Grace Mwanja, nnyina Margaret Nabatanzi agamba nga yamuzaala ng’azitowa kkiro 3.2, wabula bweyagenda akula n’asaka omubiri ogwamuleetera okuweza kkiro 177 ku myaka 12 egy’obukulu.
Omugejjo guno gwamuleetera okufuna ebirwadde okuli ssukaali, amasavu mu musaayi, okukaluubirizibwa mu kussa n’okwogera wamu n’okuboolwa ku masomero.
Nabatanzi agambye nti awuubye omwana mu malwaliro ag’enjawulo wabula nga n’ensimbi z’obujjanjabi zimwekubya mpi, nti kubanga buli wiiki beetaaga ensimbi obukadde bwa shs wakiri bubiri okufuna eddagala.
Oluvannyuma Joel yakwasibwa omukugu mu by’okukozesa obubiri, Coach Richard Mawanda (Coach Rickie) okumuyambako asale ku mugejjo.
Coach Rickie agambye nti mu bbanga ery’omwezi gumu ly’amaze n’omwana ono, waliwo enjawulo nnene kubanga eyali azitowa kkiro 177 kati asazeeko 3, eyali atambulira eddakiika emu, kati asobola okutambula eddakiika 30, onga n’olulimi lwetadde era kati osobola bulungi n’okwogera eddoboozi nerivaayo.
Omukugu mu ndwadde z’obwongo okuva mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Hafiswa Lukwata yeebazizza nnyo Nnaabagereka ne bannamikago abalala abawomye omutwe mu nteekateeka y’okulwanyisa endwadde z’obwonga okuli I&M Bank, Airtel Uganda ne UCC olwa kaweefube ono, n’asuubiza ku lwa ministry okuyamba mu ngeri yeemu.
Dr. Lukwata agambye nti omugejjo mu baana tegukosa mubiri gwokka wabula n’obwongo kubanga omwana oyo aba takyayala mu banne, tasobola kuzannya na banne, awulira okusosolebwa ekimuviirako okukabirirwa mu bwongo olwo nabwo nebukosebwa.
Dr. Lukwata awabudde abazadde okuyamba abaana nga babawa emmere entuufu, nga babakkiriza okuzannya, babawa obudde obumala okuwummula n’okubabeera lwebeetaaga okuwulirizibwa.
Minister w’enkulaakulana y’abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka Owek. Cotilda Nakate Kikomeko asabye abazadde okwewala okusirikira ebizibu ebituuka ku baana babwe, nti kubanga bwebeesowolayo lwebafuna abayinza okubayamba.
Owek. Nakate asabye abazira kisa okuyamba ku baana ab’engeri eno kubanga bangi gyebali eyo abeetaaga okuyambibwa.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka