Akakiiko ka parliament akavunanyizibwa ku kusunsula abantu ababa balondeddwa Omukukembeze w’e ggwanga, kasunsudde Juma Witonze Kisekka ku kifo kya minister omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga.
Ensisinkano eno yetabiddwamu akulembera akakiiko kano, era sipiika wa parliament Markson Jackson Oboth Oboth, Amyuka sipiikaThomas Tayebwa, akulira oludda oluwabula government Joel Ssenyonyi n’abakiise ku kakiiko kano.
Wabula okwawukanako nga bulijjo, tewali mubaka atuula ku kakiiko kano ayogeddeko ne banamawulire kwebyo ebibaddeyo.
Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa atutegezeza nga bwebakiriziganyizza obutabaako kyebogera wabula baakuwa alipoota eri omukukembeze we ggwanga ku byebazudde ku muntu we gweyalonze.
Wabula oluvanyuma twogeddeko ne Juma weitonze Kisekka asunsuddwa naatutegeeza nti buli kimu kitambudde bulungi, ngera asuubizza okukorera abantu okulabanga tewali kyekubiira mu mirimu gya ministry ye ye nsonga zo munda mu ggwanga.
Bisakiddwa: Nnabagereka Edithie












