Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abasomesa mu masomero g’Obwakabaka okubeera ekyokulabirako ekisooka, basomese abaana b’eggwanga n’okwagala era nga bakimanyi nti okusomesa kuyitibwa.
Katikkiro abadde alambula essomero lya Lubiri High school Buloba Campus, ng’awerekeddwako Minister w’ebyenjigiriza n’ebyobulamu era nga yavunaanyizibwa ku wofiisi ya Nnaabagereka Owek Cotilda Nakate ne Minister w’amawulire ,okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe.
Katikkiro agambye nti abasomesa obutafaananako baweereza balala, bbo bankizo nnyo eri embeera z’abayizi.
Yebazizza abaddukanya essomero lino okukuumira abaana mu mpisa.
Katikkiro asabye abasomesa okumanya nti Okusomesa abaana kubeera kuyitibwa okwenjawulo, naabasaba baweereze nga bakimanyi nti byebasiga mu bayizi olwa leero byakukungulwa enkya.
Mungeri yeemu Owomumbuga asabye abakulira essomero lya Lubiri High school Buloba Campus okunyweeza Obumu n’Enkolagana n’abaweereza ku mitendera gyonna,okugonza Obuweereza.
Ssentebe wa boodi ya Lubiri High school Buloba Campus Amos Gita ,agambye nti mu bbanga lya myaka 13 bukyanga liggulwaawo, lisomesezza abayizi ab’ebiti ebyenjawulo, abafuuse ab’omugaso eri eggwanga.
Omukulu w’Essomero lya Lubiri High school Buloba Campus Charles Ssebina agambye nti ekya Katikkiro okubalambulako kibasanyusizza nnyo era kyakusobozesezza Katikkiro okumanya Obwetaavu bw’ebizimbe ebirala , olwomuwendo gw’Abayizi ogulinnya buli kadde.
Bisakiddwa: Kato Denis