Obwakabaka bwa Buganda bukoze ennoongosereza mu luyimba ‘Ekitiibwa kya Buganda’, nga zikoleddwa abakugu mu by’ennyimba n’enjatula y’ebimu ku bigambo, okuggyayo amakulu agalambikibwa mu lulimi oluganda.
Ekitiibwa kya Buganda kino ekinyuvu kyayiiyizibwa omugenzi Rev.Canon Polecap Kakooza mu 1939, era Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima nafuuka Omuzira wa Buganda.
Oluvannyuma lw’emyaka 87, Lukoleddwamu ennoongoosereza okutuukana n’ennyimba ey’ekikugu, ng’enviga yaalwo esobola n’okutukana n’amaloboozi agafulumira mu bivuga eby’omulembe.
Lulongooseddwa omukugu mu by’ennyimba Kizito Mayambala, mu mwaka 2026, era naalutendeka abayiimbi ba St.Charles Lwanga Lubaga Cathedral choir.
Enteekateeka eno yatandika mu 2023 n’okwebuuza ku bakugu abenjawulo, okutuusa werutongolezeddwa mu 2026.
Omukolo gwokulutongoza gubadde mu Bulange Mengo.
Ebimu ku bigambo ebiriko ensonga, era ebitereezeddwa enjatula
-Okwetoloola Ensi yonna.
– Baalwana nnyo mu ntalo
-Tulyagaleenga
-Ba Jajja ffe
– Ssaabasajja Kabaka asaana afuge Obuganda Bwonna
– Naffe nga tumwesiga
– Tubundugguleko emikiso gyo Era, Baffe omukuume nga
N’ebirala.
Bwabadde atongoza ennongoosereza zino, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yeebazizza Omugenzi Polecap Kakooza olw’okwolesebwa okusukkulumu, ng’ebyo byeyayiiya bituukana na buli mulembe, era nga naye lwatuuka n’okumufuula omuzira wa Buganda.
Katikkiro mungeri eyenjawulo asabye nti ebigambo ebibadde tebyatulwa bulungi mu Kitiibwa kya Buganda byetegerezebwe, buli muntu abiyige okuggyayo ekigendererwa kyazo.
Ekitiibwa kya Buganda asabye nti kibeere nga mu mpaka zÁmasomero mu Buganda ezÓkuyimba emizannyo ne katemba.
Katikkiro akinogaanyizza nti ennoongosereza zino ezitongozeddwa, yeemu ku nteekateeka y’okukuza Amatikkirwa ga Ssaabasakka Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 33.
Minister wa gavumenti ez’ebitundu era nga yavunaanyizibwa ku Bantu ba Kabaka ebweru wa Buganda Owek Joseph Kawuki, yebazizza katikkiro olw’obuwabuzi obuzze bukolebwa mu nteekateeka eno.
Kizito Mayambala nga y’akulembeddemu aba St Charles Lwanga Lubaga Cathedral Choir, yebazizza Obwakabaka olw’omukisa ogwabaweebwa, kyokka nategeeza nti buli kikwatiddwako mu noongosereza zino kibadde kisaanidde ku lw’Obulungi bwa Buganda.

Omukolo guno gwetabiddwako omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule, minister w’Abavubuka eby’Emizannyo n’Ebitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Namwaama Augustine Kizito Mutumba,Owek Noah Kuyimba, Olukiiko lw’Abavubuka ba Buganda olwokuntikko, Abayizi okuva ku Lubiri High Buloba ne Main campus mu Lubiri, n’Abantu abalala bangi.
Fr. Deogratious Mugabo Bisangwa okuva mu Lugazi Diocese, yaakulembeddemu essaala y’okusabira omukolo guno oguyindidde mu Bulange e Mengo.
Fr. Mugabo agambye nti oluyimba luno lulimi emiramwa mingi, omuli okunyweza obwesigwa eri Kabaka waffe, n’okwagala bannaffe.
Agambye nti lujjukiza buli omu okuweereza n’obwesimbu bulijjo, obwetowaze era n’omwoyo ogw’ekwawayo.
Awanjagidde Katonda buli Ekitiibwa kya Buganda bwerunaayimbibwanga ebigambo by’alwo bireme kusigala ku mimwa kwokka, wabula birabikire bulijjo mu bulamu bw’abantu ba Buganda, Obwakabaka bwa Buganda bweyongere okukulaakulana.#












