Olulimi Oluganda lusomeddwa mu kanisa ya St. Paul’s Cathedral e London mu Bungereza, era lwe lulimi olusibuka ku lukalu lwa Africa olusookedde ddala okusomwamu.
Oluganda lwasomeddwa mu kitundu kya Bayibuli, okuva mu kitabo kya Bakolinso ekyokubiri 4: 5-12, mu kusaba okwabaddewo nga 02 June,2024.
Ekitundu ekyo kyasomeddwa Jennifer Muwonge muwala w’omugenzi Muwonge Samuel Wamala eyali Munnakibiina ky’Olulimi Oluganda.
Jennifer Muwonge muweereza mu kkanisa eno, era yabutandika yaakagenda e Bungereza ng’akyasoma ku bwannakyewa, obuvunaanyizibwa bwatambuzza n’okutuusa kati.
Ekanisa ya St. Paul’s Cathedral e London mu Bungereza yabyafaayo, era nga muno Prince Charles III mweyagattibwa mu bufumbo obutukuvu ne Princess Diana Spencer.
Mu ngeri yeemu mwemwategekebwa okusabira eyali Katikkiro wa Bungereza mu biseera bya Ssematalo II, Sir Winston Churchhill.