Obwakabaka bwa Buganda wamu ne bannamikago abatakabanira obutonde bw’ensi, banjudde enteekateeka y’okukuza wiiki y’Obutonde bw’ensi mu Buganda, etandika 8 June okutuuka nga 14 June,2024.
Entikko y’emikolo yakubeera ku mwalo e Ggaba mu ssaza Kyaddondo.
Minisiter w’Obutonde bwensi mu Buganda Owek. Hajjat Marriam Nassenje Nkalubo Mayanja, agambye nti mu wiiki eyo mutegekeddwamu ebintu bingi ddala ebyetooloolera ku nsonga y’Okukuuma, okutaasa n’okuzzaawo obutonde bw’ensi.
Mulimu okusimba emiti, okukola bulungibwansi mu bifo eby’enjawulo, okukubaganya ebirowoozo okuva mu baana b’amasomero, okusimba ekibira kya Kabaka n’ebirala.
Mu nsisinkano ne bannamawulire wamu ne bannamikago, Owek Mariam Mayanja agambye nti enteekateeka eno yakutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Okuteekateeka abaana mu kukuuma, Okutaasa n’Okuzzaawo obutonde bw’ensi obw’olubeerera”
Ategeezezza nti essira liteereddwa nnyo ku baana nti kubanga kati bebasobola okusomesebwa n’okutegeera obulungi emigaso gy’okukuuma obutonde bw’ensi nebakula nga bamanyi bulungi ebivaamu singa buba bulagajjaliddwa.
Olunaku lw’Obutonde bw’ensi mu Buganda lwakukuzibwa nga 12 June,2024 ku ssomero lya Mengo SS mu Kyaddondo.
Nga 10 June, wakusookawo okukubaganya ebirowoozo okuva mu baana b’amasomero ag’enjawulo okunaayindira ku ssomero lya Buddo Parents Academy mu Busiro.
Nga 14 June, Obwakabaka bwakusimba ekibira kya Kabaka ku kyalo Kibugga mu ssaza Butambala.
Wilbert Ikalai omukungu wa NEMA avunaanyizibwa ku kusomesa ku nkuuma y’obutonde bw’ensi, yeeyanzizza Ssaabasajja olw’okubeera omusaale mu kukubiriza abantu be okukuuma obutonde bw’ensi, kyagambye nti kibayamba nnyo okutuukiriza omulimu gwabwe.
Ikalai agambye nti NEMA yakwongera enkolagana ne Buganda mu kaweefube w’okuzzaawo n’okutaasa obutonde bw’ensi.
Wabula yennyamidde olw’abannantagambwako abeefunyiridde okusanyaawo entobazzi nga bazizimbamu amakolero, okuyiikuulamu omusenyu, ebbumba n’okussaamu ebintu ebittattana obutonde bwensi.
Wabula agambye nti nga bakozesa amateeka, bonna aboonoona n’okusanyaawo entobazzi bakugobwamu nga bwebakola mu lutobazzi lw’e Lubigi n’awalala.
Jemimah Akatekiti owa Crown Beverages abakola soda wa Pepsi, agambye nti batandise ku nteekateeka y’okuleeta ekyuma ekigaaya obucupa bwa plastic bukolebwemu ebintu ebirala, mu kaweefube w’okutaasa obutonde bwensi, n’asuubiza okukolagana ne Buganda ku nsonga eno.
Henry Kigozi okuva mu Roofings asuubizza ku lwa kkampuni okunnyikiza enteekateeka y’okugaba endokwa mu bantu ba Kabaka basimbe emiti, nti kubanga buli azimba abaako emiti gyatemye kale nga kiba kikulu nnyo okugizzaawo.
Agambye nti mu wiiki y’okukuza olunaku lw’obutonde bw’ensi baakuwaayo endokwa z’emiti 10,500 eri Buganda zigabirwe abantu ba Kabaka.
Ensisinkano eno yeetabyemu bannamikago abalala okuli aba Bio Vision Africa abasomesa n’okubangula abantu ku nkuuma y’Obutonde bw’ensi, aba Eco Save LTD abakola amasannyalaze ga Bio gas n’abalala.
Olunaku lw’ensi yonna olw’obutonde bw’ensi lwakukuzibwa nga 5 June,2024 ng’emikolo emikulu egy’eggwanga gyakuyindira mu district y’e Sironko.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K