Obwakabaka bwa Buganda buwadde obweeyamo obwokwongera okusitula Omwana Omulenzi ayongera okuwagirwa mu mbeera zonna, okumusobozesa okuba abakozi, n’okubeera abantu balamu mu byebakola.
Bwabadde yeetabye mu kukuza olunaku lw’Omwana Omulenzi ku ssomero lya Greenhill Academy Kibuli, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti okukuza Omwana Omulenzi nga muvumu era wa nsa kitwala obudde obuwerako, naasaba amasomero, eddiini ne bannakyeewa okulowooza ku Mwana Omulenzi , nga bweguli ku Muwala.
“Bataata mufeeyo kunkuza y’omwana omulenzi nga bwe kikolebwa ku muwala, obuvunaanyizibwa tuleme kubulekera ba Maama bokka, wabula naffe tuweeyo obudde eri abaana” Katikkiro
Katikkiro yebazizza abaddukanya essomero lya Greenhill Academy wonna mu ggwanga olwokujjukira Omwana Omulenzi , naasaba amasomero amalala galabire ku ssomero lino Omwana Omulenzi adde ku mulamwa.
Akulira Greenhill schools Veronica Joy Marack, agambye nti okukuza olunaku lw’Abaami ku ssomero lino kwatandika emyaka mukaaga emabega, oluvannyuma lw’ekitongole ky’Amawanga amagatte obutalowooza ku bizibu Abasajja byebayitamu.
Marack agambye nti Okunoonyereza kwebakoze kuzudde nti Abaana abalenzi abatakula na Bazadde basajja bafuna okusomooza okwenjawulo naasaba, bayambibweko baleme kukosebwa.
Abayizi abalenzi ku ssomero lino aboogeddeko ne CBS bategeezezza, nti olunaku lw’abasajja ku ssomero lino lwongedde okubalaga Obuvunaanyizibwa Omwana Omulenzi bwaalina eri okukula kw’ensi eno, nebasaba abasajja bonna balowoozebwengako mu kusomooza okwenjawulo kwebasanga.
Bisakiddwa: Kato Denis