Government ya Uganda erangiridde mu butongole nti Eggwanga terikyalimu kirwadde kya Ebola, oluvannyuma lw’okumala ennaku 42 nga tewali muntu yenna azuuliddwamu kirqadde.
Minister w’ebyobulamu Chris Baryomunsi abadde ku media centre mu Kampala, nategeeza nti abantu 20 bebaazulwamu ekirwadde mu bbanga ery’emyezi 2 egiyise, 18 bajjanjabibwa nebawona, ate 2 nebafa.
Abantu 17 baali bannansi ba DRC, ate 3 baali bannanuganda.
Abantu 2 abaafa nabo baali bacongo.

Minister Baryomunsi agambye nti abantu abaasooka okuzulwamu ekirwadde nga 15 May,2026 baali bacongo abaali bazze mu Uganda okufuna obujjanjabi ku bulwadde obwali bubatawanya, okuvannyuma obwazuulwa nti yali Ebola.
Minister akinogaanyizza nti bagenda kusigala nga bekebejja abantu bonna abayingira Uganda ku nsalo e Kaseese newala, okwongera okutaangira Ebola okudda mu Uganda.
Minister Baryomunsi era akoowodde bannansi b’amawanga agaali gayimiriza bannansi baago okujja mu Uganda okuggyawo ekkoligo eryo, kubanga ebola yaweddewo.
Miniatry taddewo enamba y’essimu abantu abalina bebekengedde okuba ne Ebola, kwebayinza okuweereza obubaka olwo abakugu nebajja nebabekebejja. Eri 6767. Wandiika obubaka obuweereze ku namba eyo.
Ate abaagala okukuba obujubi essimu eri 0800100066
Bisakiddwa: Ddungu Davis












