Bazzukulu ba Nsamba abeddira Engabi basitukidde mu Ngabo y’Omupiira gw’Ebika by’Abaganda ey’omwaka 2024.
Ab’engabi bamezze bazzukulu ba Mazige abeddira e Mpindi ku Goolo 1- 0.
Mu mupiira ogunyumidde abalabi mu kisaawe e Wankulukuku ,goolo y’Engabi Ensamba eteebeddwa Vian Ssekajugo agucangira mu URA, mu kitundu ky’Omuzannyo ekisooka.
Empaka zino zibadde zizannyibwa Omulundi ogwa 50, era nga Engabi ewangudde Engabo omulundi gwa 5, nga yali yasembayo okugiwangula mu mwaka 2013, era kwolwo yawangula Empindi.
Ensimbi obukadde 10 ziweereddwa tiimu y’Engabi Ensamba.
Obukadde 7 neziweebwa Empindi ekutte ekifo ekyokubiri.
Bazzukulu ba Nakirembeka ab’Omutima Omuyanja bakutte kyakusatu nebafuna Obukadde bwa shilling buna.
Bazzukulu ba Mugema abeddira Enkima bamalidde mu kyakuna bafunye obukadde bwa shs busatu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, atenderezza tiimu ezivuganyizza mu mpaka zino olw’Omutindo ogwooleseddwa.
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Kitaffe mu Katonda Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu nga yeddira Mpindi era nga yabadde Omugenyi owenjawulo, yeebazizza nnyo Maasomooji olw’okusiima Empaka zino zibeewo, kuba ziwa omukisa abavubuka okututumuka.
Omutaka Nsamba Lubega Magandaazi Aloysius omukulu w’Ekika ky’Engabi Ensamba ategezeezza nti obuwanguzi obutukiddwaako bwakubayambako okukumaakuma abazukulu okwenyigira mu mirimu gyEkika.
Minister w’Abavubuka , Ebyemizannyo n’Ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga agambye nti empaka zino zijjumbiddwa mu nkola eyoleka Obumu, ekyongedde Empaka zino amaanyi.
Omutaka Eng Allan Waliggo omukulu w’Ekika ky’Omutima Omusagi ng’akutte ekifo kyakusatu, alabudde ebika ebirala nti byerinde Omutima Omusagi sizoni ejja.
Ssentebe w’Olukiiko olutesiteesi lw’Empaka z’Ebika by’Abaganda Owek Haji Sulaiman Katambala era nga ye mwaami sa Ssaabasajja ow’essaza Butambala yebazizza bonna abalina kyebakoze okulaba ng’empaka zino zikomekkerezebwa mu mirembe n’Omukwano.
Abazannyi abasukkulumye ku bannaabwe mu kucanga endiba, kubaddeko Isaac Mpagi ow’Ekika ky’Enseenene aweereddwa engule n’Ensimbi enkalu.
Allan Mugalu ow’Empindi nga agucangira mu Tiimu NEC yasinze okuzannya naye aweereddwa engule n’Ensimbi.
Kiggundu Denis ow’Enkima yalondeddwa nga omukuumi wa Goolo asinze banne ng’azannyira mu Vipers.
Tiimu y’Enjaza erondeddwa nga tiimu esinze okukuuma empisa.
Empaka zino ziwagiddwa Airtel Uganda, ekyokunywa kya PEPSI, Majestic Brands, CBS FM, BBS Terefayina n’abalala.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Ssebuliba Julius