Leero 24 May,2024 giweze emyaka 58 bukya Olubiri lwa Kabaka olw’e Mengo lulumbibwa amagye ga Uganda n’ekigendererwa eky’okutuusa obulabe ku Kabaka Muteesa II.
Ku Muzikiti e Kibuli, wabaddewo okusabira Obuganda ne Kabaka Ronald Mutebi II, Katonda ayongere okumukuuma, n’okumuwa obulamu obulungi ng’ali ku Nnamulondo.
Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, Omumyuka Asooka owa Katikkiro, yaasomye obubaka bwa Katikkiro oluvannyuma lw’okusaala Juma.
Mu bubaka bwe, Katikkiro ategeezeza nti,Obwakabaka bwakomawo, era ebiseera eby’okwekubagiza byakoma.
“Tulina okulwana okuzzaawo n’okunyweza ekitiibwa kya Buganda”
Ayongedde okusaba government eya wakati okuddiza Obuganda ebyabwo ebikyasigalidde, kubanga byanyagibwa bunyagibwa n’olwekyo kiba kikolwa kya bwenkabya okubiddiza bannyini byo.
Ebintu ebyanyagibwa mulimu ebizimbe by’amasaza n’amagombolola, ettaka n’ebirala, ng’emyaka 58 wegiweredde, ebisinga obungi byakomawo, kati Obwakabaka busaba n’ebikyasigalidde bikomewo.#